Twandisabye osukkewo ku misomo gya bayibuli wabula obeere kitundu ku LGG owagire ng’oyita mubuvujjirizi obwejawulo nga okugula emisomo gya bayibuli,oba okuwereza wamu naffe.
Abakyala abasobola okuvvuunula ebiwandiiko okuva mu Lungereza okudda mu. Twetaaga okumanya ennyo ennimi zombi. (Obumanyirivu mu by’ekikugu bya nkizo.)
Ku LGG, ebintu byonna bye tuwandiika oba bye tuvvuunula byekenneenyezebwa era ne bitereezebwa nga tebinnaba kufulumizibwa. Twetaaga abakungaanya okutuyamba mu mulimu guno.
Ebisaanyizo by’okubeera omukungaanya mulimu okuba omumanyi mululimi, enkozesa y’ebigambo,okuwandiika,okwetayiza mululimi wamu n’okumanya bayibuli.
Abakyala abamanyi okukozesa (oba ab’etegefu okuyiga okukozesa) tekinologiya ow’enjawulo omuli Canva, Photoshop oba graphic editor okukola ebifaananyi ebyetaagisa mu kuyiga Baibuli.
Oyagala nnyo okuyamba abakyala abalala okukula mu bulamu bwabwe obw’omwoyo? Twagala okukusembereza byona ebikozesebwa mukutendeka n’okubangula kikusobozese okutandika LGG eyiyo mwonoyita okusomesa abalal okwongera okukula n’okunywera mu mukama.
Ffenna twetaaga okuzzibwamu amaanyi. Mu kiseera kino tunoonya abakyala abalina ekirabo eky’okukumakuma banabwe era n’okubagazisa okukula mu kristo.
Obwanakyewa mu kitundu kino kuzingiramu obuweereza obwokwanukula ensonga, okusabira abalala, okukung’aanya ebiwandiiko…
Tukimanyi nti oyagala okuleeta enjawulo! Wegatte ku Love God Greatly n’ekigendererwa ekyokulwanyisa obutamanya Baibuli okwetoloola ensi yonna, n’okuwaayo ebikozesebwa mu kuyiga Baibuli mu nnimi eziwerako nga bwe tusobola.
Ng’ekibiina ekyobwanakyewa, Love God Greatly weri kulw’omutima omulungi abakyala nga gwe gwe balina abaasazeewo okuteeka ssente mu bintu ebikulu ddala.
Buli kuwaayo kukola amakulu ag’olubeerera.