Ebikumi n’enkumi z’abakyala bakuŋŋaana okwetooloola ensi yonna okuyiga Ekigambo kya Katonda nga bayita mumisomo gya bayibuli ezivvunuddwa aba Love God Greatly. Abakyala abamu emisomo gyaffe bagikola bokka ate abalala ne begatta ku bibiina by’omu kitundu oba ebibiina ebiri ku mutimbaganoi. Okuva mu ssamba z’emwanyi Colombia okutuuka mu bibuga ebinene eby’omu Mexico. Okuva mu bibira bye Venezuela okutuuka mu Patagonia mu Argentina, abakyala bakwatagana si kusoma Baibuli kyoka, wabula ne bakola n’ebitundu ebirimu okwagala n’okuzzaamu amaanyi mwe bayinza okukuliza obulamu bwabwe obw’omwoyo.
Twegatteko mu kujaguza byonna Katonda by’akola ng’ayita mu Love God Greatly nga bw’osoma obujulizi okuva mu bamu ku bakyala baffe.
“Abakazi bwe bateekebwamu okumanya amazima ga Katonda, ensi ekyusibwa omukazi omu ku omu.”
Love God Greatly etandika n’enteekateeka ennyangu ey’okusoma Baibuli, naye tetukoma awo. Twagala nnyo okukuŋŋaanira mu maka n’amakanisa mu kitundu, ate abalala ne tukwataganira ku mutimbagano n’abakyala okwetoloola ensi yonna.
Tukimanyi nti oyagala okuleeta enjawulo! Wegatte ku Love God Greatly n’ekigendererwa ekyokulwanyisa obutamanya Baibuli okwetoloola ensi yonna, n’okuwaayo ebikozesebwa mu kuyiga Baibuli mu nnimi eziwerako nga bwe tusobola.
Ng’ekibiina ekyobwanakyewa, Love God Greatly weri kulw’omutima omulungi abakyala nga gwe gwe balina abaasazeewo okuteeka ssente mu bintu ebikulu ddala.
Buli kuwaayo kukola amakulu ag’olubeerera.